Isaiah 25

1 aGgwe, Ayi Mukama, gwe Katonda wange;
ndikugulumiza ne ntendereza erinnya lyo,
kubanga okoze ebintu eby’ettendo,
ebintu bye wateekateeka edda,
mu bwesigwa bwo.
2 bEkibuga okifudde ntuumu ya bisasiro,
ekibuga ekiriko ekigo okifudde matongo,
ekibuga omwaddukiranga bannaggwanga tekikyali kibuga,
tekirizimbibwa nate.
3 cAbantu ab’amaanyi kyebaliva bakussaamu ekitiibwa
n’ebibuga eby’amawanga ag’entiisa birikutya.
4 dDdala obadde kiddukiro eri abaavu,
ekiddukiro eri oyo eyeetaaga,
ekiddukiro ng’eriyo embuyaga
n’ekisiikirize awali ebbugumu.
Omukka gw’ab’entiisa
guli ng’embuyaga ekuntira ku kisenge
5 eera ng’ebbugumu ery’omu ddungu.
Osirisa oluyoogaano lw’abannaggwanga,
era ng’ekisiikirize eky’ekire bwe kikendeeza ebbugumu,
n’oluyimba lw’abakambwe bwe lusirisibwa.

6 fKu lusozi luno Mukama Katonda ow’Eggye aliteekerateekerako
abantu bonna ekijjulo eky’emmere ennungi,
n’embaga eya wayini omuka
n’ennyama esingayo obulungi, ne wayini asinga obulungi.
7 gKu lusozi luno alizikiriza
ekibikka ekyetoolodde abantu bonna,
n’eggigi eribikka amawanga gonna,
8 hera alimalirawo ddala okufa.
Mukama Katonda alisangula amaziga
mu maaso gonna,
era aliggyawo okuswazibwa kw’abantu be
mu nsi yonna.
Mukama ayogedde.
9 iMu biro ebyo balyogera nti,

“Eky’amazima oyo ye Katonda waffe;
twamwesiga n’atulokola.
Ono ye Mukama Katonda twamwesiga;
tusanyukire mu bulokozi bwe, era tumujagulizeemu.”

10 jDdala omukono gwa Mukama Katonda guliwummulira ku lusozi luno,
naye Mowaabu alirinnyirirwa wansi we,
ng’essubi bwe lirinnyirirwa okukolamu ebijimusa.
11 kAligolola emikono gye,
ng’omuwuzi bw’agolola emikono gye ng’awuga.
Katonda alikkakkanya amalala ge
newaakubadde ng’emikono gye gikola eby’amagezi.
12 lAlimenya bbugwe omuwanvu,
n’amusuula,
alimusuula ku ttaka,
mu nfuufu.
Copyright information for LugEEEE